Ezekiel 18:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atanyigiriza muntu, n'atasaba musingo, n'atanyakula bintu, emmere ye n'agigabirako ku muyala, n'ayita obusa n'amuwaayo ku kagoye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
atanyigiriza muntu yenna newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola, atabba, naye agabira emmere abayala n’abali obwereere n’abambaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
natalyazaamaanya muntu yenna, natasingirwa kintu, natabba, naye n'awanga omuyala emmere, naayambanga ali obwereere,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wadde okubaako gw'alyazaamaanya; n'atabaako musingo gw'atwala wadde okubaako ky'anyaga olw'amaanyi, kyokka n'agabiranga abayala emmere, n'abali obwereere n'abawanga ebyokwambala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so atalyazaamaanyanga muntu yenna, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maanyi, naye eyawanga omuyala emmere ye, eyabikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo,