Ezekiel 18:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ataganya mukono gwe kukola bubi, n'atawola na buliika yadde okutwala amagoba agayitiridde, n'akwata amateeka gange, n'atambulira mu biragiro byange, oyo talifa olw'ebibi bya kitaawe, oyo alirama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeekuuma obutakola kibi, n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde, era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange. Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atakolanga bubi omwavu, n'atakkirizanga magoba newakubadde ensimbi ezisukiridde kwezo zeyawola, nnaakwatanga ebiragiro n'amateeka gange, oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, naye aliba mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeewala okuyisa obubi abaavu, era n'atakkiriza kuwola lwa kufuna magoba na kwegaggawaza; n'akwata amateeka gange era n'atuukiriza bye ndagira, oyo talifa lwa bibi bya kitaawe, wabula ddala aliba mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyaggyako omukono gwe eri omwavu, atakkirizanga magoba newakubadde ebisukkirira, eyatuukirizanga emisango gyange, eyatambuliranga mu mateeka gange; oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, talirema kuba mulamu.