Ezekiel 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugamba nti: ‘Lwaki omwana teyeetikka musango gwa kibi kya kitaawe?’ Lwa kubeera ng'omwana yakola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, amateeka gange gonna n'agakwata butiribiri, aliba mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye mwebuuza nti, Omwana kiki ekimulobera okubonaabona olw'obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa ebituufu, era ng'akutte amateeka gange gonna, n'agatuukiriza, ye aliba mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mwebuuza nti: ‘Omwana lwaki tavunaanibwa bibi bya kitaawe?’ Omwana bw'aba ng'akoze ebituufu by'agwanira okukola, era ng'akutte amateeka gange gonna n'agatuukiriza, talirema kuba mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye mwogera nti Omwana kiki ekimulobera okubaako obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa eby'ensonga, era ng'akutte amateeka gange gonna, era ng'agakoze, talirema kuba mulamu.