Ezekiel 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kiki kye mutegeeza bwe mugera olugero ku nsi ya Yisirayeli nti: “ ‘Bakitaabwe baalya emizabbibu emibisi, amannyo g'abaana ne ganyenyeera’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti, “ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa, n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mubadde mutya abagera olugero luno mu nsi ya Yisirayeli nga mugamba nti: ‘Abazadde baalya enkenene ezikambagga, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula n'amannyo g'abaana ganyenyeera?