Ezekiel 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye omubi bw'akyuka n'ava ku bibi bye byonna bye yali akoze, n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu, oyo alirama, talifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa ebituufu, aliba mulamu, talifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye omuntu omubi bw'anaakyukanga n'alekayo ebibi bye byonna bye yakola, n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebituufu bye ndagira, talifa, mazima aliba mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa eby'ensonga, talirema kuba mulamu, talifa.