Ezekiel 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emisango gye gyonna gye yazza tegirijjukirwa kumuvuunaanibwa; olw'obutuukirivu bwe yakola alibeera mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliba ku byonoono bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye: alibeera mulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibi bye byonna bye yakola birimusonyiyibwa, n'aba mulamu, kubanga akoze ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaliba ku byonoono bye bye yayonoona ebirijjukirwa ku ye: alibeera omulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola.