Ezekiel 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazzi nsanyukira okufa kw'omubi, Omukama Katonda y'agamba, oba nsinga kusanyukira eky'omubi okuva mu makubo ge abeere mulamu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? Bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowooza nga nsanyukira okufa kw'omwonoonyi? Nedda, wabula njagala yeenenye, abe mulamu.” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?