Ezekiel 18:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye omutuukirivu bw'aliwaba n'ava mu butuukirivu bwe, n'akola obubi, n'akola ebyenyinyalwa byonna omubi by'akola, alirama? Ebikolwa byonna eby'obutuukirivu by'aliba akoze tebirijjukirwa. Olw'okubeera obulyake bwe obumuvunaanibwa olw'ebibi bye yakola, alifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyokka omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, era ebyenyinyalwa byonna, abantu ababi bye bakola, aliba mulamu? Nedda, tewali na kimu ku bikolwa bye ebirungi bye yakola, ekirijjukirwa. Alifa olw'obutakuuma bwesigwa, n'olw'ebibi by'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.