Ezekiel 18:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kati mugamba nti: ‘Ekkubo ly'Omukama si ttuufu.’ Kale, ennyumba ya Yisirayeli, wulira: Ekkubo eryange lye litali ttuufu, sso si gammwe ge gatali matuufu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Muwulire nno, ayi ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya.’ Muwulire mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Kye nkola si kya bwenkanya? Enkola yammwe ye eteri ya bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?