Ezekiel 18:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa omutuukirivu awaba n'ava mu butuukirivu bwe, n'akola obubi, alifa olw'ekyo; olw'obubi bw'akoze, alifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, n'afiira mu byo, aba afudde lwa bibi bye by'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira.