Ezekiel 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennyumba ya Yisirayeli egamba nti: ‘Ekkubo ly'Omukama si ttuufu.’ Amakubo agange ge gatali matuufu, nnyumba ya Yisirayeli, sso si gammwe ge gatali matuufu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya?’ Yii, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, kye nkola kye kitali kya bwenkanya? Nedda. Enkola eyammwe ye eteri ya bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?