Ezekiel 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, nnyumba ya Yisirayeli, buli omu ndimulamula nga ngerera ku makubo ge, Omukama Katonda y'agamba. Mwenenye, muve mu bisobyo byammwe byonna, ekibi kireme kubeera nsonga ya kuzikirira kwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva mbasalira omusango, ayi ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomewo, mukyuke muve mu byonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti ndisalira buli omu ku mmwe omusango nga nsinziira ku by'akoze. Mukyuke, muve mu bibi byammwe byonna, ebibi byammwe ebyo bireme kubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva mbasalira omusango, ai ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomeewo, mukyuke okuleka ebyonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza.