Ezekiel 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mweggyeko emisango gyammwe gyonna gye mwazza, mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya. Lwaki mwandifudde, mmwe nnyumba ya Yisirayeli?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musuule wala ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mweggyeeko ebibi byammwe byonna bye mukoze, mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya. Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, lwaki mwagala okufa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musuule wala nammwe ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mwekolere omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?