Ezekiel 18:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli muntu wange; omuzadde n'omwana bombi bange; anaakolanga ekibi y'anaafanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, emmeeme zonna zange; emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana zonna zange, oyo anaakolanga ekibi y'alifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nfuga obulamu bwa buli muntu, obw'omuzadde n'obw'omwana. Oyo anaakolanga ekibi ye anaafanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, emmeeme zonna zange; ng'emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana bw'etyo yange: emmeeme ekola ekibi ye erifa.