Ezekiel 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'aliba omutuukirivu, ng'akola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Emmeeme eyonoona ye erifa, omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa ebituufu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu omulungi ye oyo atuukiriza by'alagirwa okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa eby'ensonga,