Ezekiel 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
taliira ku nsozi, amaaso ge tagatunuuliza bifaananyi bya balubaale eby'ennyumba ya Yisirayeli, tagwagwawaza muka munne, tasemberera mukazi ali mu biseera bye eby'omwezi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga talya mu masabo agali ku nsozi newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri; n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we, newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
natasinza bifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, n'atalya ebiweereddwayo ku nsozi, natayonoona mukazi wa munne, natasemberera mukazi mu biseera bye eby'okweyawula buli mwezi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, wadde okuliira ku nsozi ebyo bye babitambirira. Tasigula muka munne, era teyeebaka na mukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so nga taliiridde ku nsozi, so nga tayimusizza maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonye mukazi wa munne, so nga tasemberedde mukazi mu biro eby'okweyawula kwe;