Ezekiel 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tanyigiriza muntu, azza omusingo gwe yatwala olw'okwewolwako, takola bunyazi, emmere ye agigabirako ku muyala, ayita obusa amuwaayo ku kagoye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuntu atalyazaamaanya muntu yenna, naye asasula ebbanja lye lyonna, atanyaga muntu yenna, naye emmere ye agigabira abayala, n’ayambaza n’abali obwereere;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
natalyazaamaanya muntu yenna, naye naddizanga omwewoze omusingo gwe, natanyaga muntu yenna, n'awanga omuyala emmere ye, n'ayambaza n'abali obwereere;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Talyazaamaanya muntu n'omu, era tabaako gw'anyagako bibye. Omuntu amwewolako amuddiza omusingo gwe. Abayala abawa ebyokulya, n'abali obwereere abawa ebyokwambala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo;