Ezekiel 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tawola na buliika, tatwala magoba gayitiridde, omukono gwe agutangira obutabeera mwenkanya, asala mu mazima wakati w'ono n'oli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
atawola lwa magoba newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola. Yeewala okukola ekibi, era asala emisango egy’ensonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ataawolanga lwa magoba, era nga takkiriza kutwala ezisukka mu ezo ze yawola, eyeewala okukola ekibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tawola lwa kufunamu magoba na kwegaggawaza. Takkiriza kukola kibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
atawolanga lwa magoba, so nga takkirizanga ebisukkirira byonna, eyaggyako omukono gwe ku butali butuukirivu, eyatuukirizanga omusango ogw'amazima eri omuntu ne munne,