Ezekiel 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
agoberera amateeka gange, n'ebiragiro byange abikwata obutiribiri, oyo ye mutuukirivu, aliba mulamu, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agoberera ebiragiro byange, n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa, oyo ye muntu omutuukirivu era aliba mulamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga ebiragiro byange, n'akolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu, talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akwata amateeka gange, era atuukiriza bye nalagira. Oyo ye muntu omulungi, era talirema kuba mulamu.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.