Ezekiel 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nnyoko ali ng'omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa awali amazzi, gwassaako ebibala n'amatabi mangi olw'amazzi amangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa okumpi n’amazzi; ne gubala ebibala ne bijjula amatabi, kubanga waaliwo amazzi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa okumpi n'awali amazzi, negujjula amatabi ne gubala olw'amazzi amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyoko yali ng'omuzabbibu ogusimbiddwa mu nnimiro, okumpi n'awali amazzi ne gujjula obutabitabi obutabala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw'amazzi amangi.