Ezekiel 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amatabi gaagwo amagumu gaavaamu ddamula w'omufuzi. Gwalangajja ne guwanvuwa mu buggumivu bw'amakoola gaagwo, nga gulengererwa wala olw'obutumbiivu n'obungi bw'amatabi gaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amatabi gaagwo gaali magumu, era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka. Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu okusinga emiti emirala, ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo, n’olw’amatabi gaagwo amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amatabi gaagwo gaali magumu, ne gatemwamu emiggo gy'obwakabaka ne giweebwa abaafuganga. Gwali muwanvu ne guyitamu okusinga emiti emirala, ne gulengerwa olw'obuwanvu bwagwo, n'olw'amatabi amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu matabi gaagwo amagumu, ne mutemwa emiggo egy'obwakabaka ne gikwatibwa abafuzi. Omuzabbibu ne guwanvuwa ne gugulumira amatabi, ne galengerwa amangi bwe gaziyidde amakoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe.