Ezekiel 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye gwasimbulibwa mu busungu, ne gusuulibwa ku ttaka; empewo y'ebuvanjuba yagukaza, ebibala byagwo ne bikunkumukako; amatabi gaagwo amagumu gaakala, omuliro ne gugasenkenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye gwasigulibwa n’ekiruyi ne gusuulibwa wansi; embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza, ebibala byagwo ne biggwaako, n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala, era ne gwokebwa omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye gwasigulibwa n'ekiruyi ne gusuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zigukaza, ebibala byagwo ne biggwako, n'amatabi gaakwo amagumu ne gakala, era ne gwokebwa omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne gukuulibwayo abo abagulinako ekiruyi, ne gusuulibwa wansi. Empewo z'ebuvanjuba zajja ne zigukaza ebibala. Ne guwogolwa amatabi, ne guwotoka ne bagwokya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yasimbulibwa olw'ekiruyi; yasuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya.