Ezekiel 19:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuliro gwatumbuka okuva mu nduli yaagwo, ne gusenkenya ebibala byagwo; tegwasigazaako ttabi ggumu muyinza kuva ddamula wa mufuzi.” Luno luyimba lwa kukungubaga era lwa kweyambisibwanga mu kukungubaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuliro gwava ku limu ku matabi, ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo. Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’ Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro gwava ku limu ku matabi gaagwo, ne gwokya ebibala byagwo, tegukyalina ttabi ggumu na limu, liyinza kukolwamu muggo gw'obwakabaka ogw'okufuga. Kuno kukungubaga, era kunaaba kukungubaga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuliro guvudde mu muggo ogwatemwa mu matabi agaagwo, ne gwokya ebibala byagwo. Tekukyali matabi magumu mutemwa miggo gya bwakabaka.’ Luno lwe luyimba olw'okukungubaga olunaayimbibwanga bulijjo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.