Ezekiel 19:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakuza akamu mu buwologoma bwayo, ne kavubukamu empologoma. N'eyiga okutaagula omuyiggo; n'ekavvula abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ekuza emu ku baana baayo n’efuuka empologoma ey’amaanyi, n’eyiga okuyigga ebisolo, n’okulya abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekuza omu ku baana baayo n'aba mpologoma envubuka, n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ekuza omu ku bo n'aba empologoma envubuka, n'eyiga okuyigga, n'etandika okulya abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuza emu ku baana baayo; n'eba mpologoma ento: n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu.