Ezekiel 19:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gaawulira ne gajja okugirumba, n'ekwatirwa mu buya bwabwe; ne bagitwalira ku malobo mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gaawulira ebimufaako, n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye, ne bamusibamu amalobo ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gagiwulira; ne gagikwasa mu bunnya bwayo ne bagisikayo n'amalobo ne bagitwala mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga ne gagikubira enduulu ne gagikwasa mu bunnya ne bagisika n'amalobo ne bagitwala mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri.