Ezekiel 19:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Enkazi bwe yalaba nga kye yali egoba tekituukiridde, ng'essuubi lyayo ligenze, n'eddira akalala ku buwologoma bwayo, n'ekafuulamu empologoma ey'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde, ne bye yali alindirira nga biyise, n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala, n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnyina waayo n'erinda, bwe yalaba tewakyali ssuubi lyonna, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina waayo n'erinda. Yalaba tewakyali ssuubi, n'eyola omwana gwayo omulala ne gufuuka empologoma envubuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enkazi bwe yalaba ng'erindiridde n'essuubi lyayo nga libuze, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento.