Ezekiel 19:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Keekandagganga kati mu buwologoma bunnaako, ne kavubukamu empologoma. Yayiga okutaagula omuyiggo, n'ekavvula abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’etambulatambula mu mpologoma, kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi, era n’eyiga okuyigga ensolo, n’okulya abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yakula n'etambulatambula mu mpologoma, n'eyiga okukwata omuyiggo, n'okulya abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yakulira ddala, n'ekumbira mu zinnewaayo, n'eyiga okuyigganga wamu n'okulya abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu.