Ezekiel 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamenya ebigo byabwe, n'ereka ttayo ebibuga byabwe. Ensi yonna n'abagirimu baawuniikirira olw'eddoboozi ly'okuwuluguma kwayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi, n’ezikiriza n’ebibuga byabwe; ensi n’abo bonna abaagibeerangamu, ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emenyamenya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu, ne batya olw'okuwuluguma kwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amayumba gaabwe n'egamenya, ebibuga byabwe n'ebizisa. Ng'ewulugumye, ne batya, ne baleka ttayo ebyabwe. Ensi eyo ne bagiddukamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yamanya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu olw'eddoboozi ery'okuwuluguma kwayo.