Ezekiel 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga ne gavaayo okugirumba, okuva wonna mu masaza ku njuyi zonna, baagitaayiza n'ekitimba kyabwe, n'ekwatirwa mu buya bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amawanga gonna ne gagirumba, okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo, ne bayanjuluza ekitimba kyabwe, ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amawanga ne gagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga ne gakuŋŋaana, ne gagitaayiza wonna n'etegebwa ebitimba, ne bagikwasa mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe.