Ezekiel 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aguzingululira mu maaso gange; gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu oluyimba olw'okukungubaga, ebiwoobe n'ebikolimo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agwanjululiza mu maaso gange; gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu. Nga guwandiikiddwamu ebigambo eby'okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agwanjululiza mu maaso gange. Gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu, nga muwandikiddwamu ebigambo by'okukungubaga, n'okukuba ebiwoobe, n'obuyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.