Ezekiel 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Mwana w'omuntu, nze nkutuma eri Abayisirayeli, eri eggwanga ejjeemu eryanjeemera; bo ne bajjajjaabwe banjeemera n'okutuusa ku lunaku luno lwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri, eri eggwanga ejjeemu: bo ne bajjajjaabwe bansobya okuva edda n'okutuusa ku lunaku olwa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, nkutuma eri Abayisirayeli, ab'eggwanga ejjeemu. Bo ne bajjajjaabwe banvaako ne banjeemera, era bakyanjeemedde n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero.