Ezekiel 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu gye nkutuma ba mutwe mugumu era ba mutima ogugubye; bagambe nti ‘Omukama Katonda kino ky'agamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma eri abo, era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma gye bali obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.