Ezekiel 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba bawulira oba tebawulira, anti bali nnyumba njeemu, kiryose bamanye nti omulanzi yaliko mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana, kubanga nnyumba njeemu, naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abajeemu abo, oba banaawuliriza, oba banaagaana okuwuliriza, naye balimanya nga waliwo omulanzi mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.