Ezekiel 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ggwe mwana w'omuntu, leka kubatya yadde okutya ebigambo byabwe. Totya newandibadde nga weetooloddwa amatovu n'amaggwa era ng'osula wakati mu njaba. Totya bye bagamba, n'entunula yaabwe tekutekemula, kubanga abo nnyumba njeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, ggwe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga bikwetoolodde, era ng'obeera wakati mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'obukambwe bwabwe, amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ggwe omuntu, tobatyanga, wadde okutyanga bye boogera, ne bw'onoobeeranga mu myeramannyo n'amaggwa, era n'obeera ne mu njaba ez'obusagwa. Totyanga bye boogera, era totiisibwatiisibwanga bukambwe bwa ntunula ya bajeemu abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.