Ezekiel 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ojja kwogera ebigambo byange gye bali, ne bwe banaawulira ne bwe bataawulire, kubanga bajeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olibagamba ebigambo byange, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana: kubanga bajeemu nnyo nnyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ojja kubategeeza bye mbagamba, oba bawuliriza oba bagaana okuwuliriza, kubanga bajeemu nnyo nnyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.