Ezekiel 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe nno, mwana w'omuntu, wulira buli kye nnaayogera gy'oli, tojeema nga bali ennyumba enjeemu; yasamya akamwa ko olye kye ŋŋenda okukuwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba; tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe omuntu, wulira kye nkugamba. Toba mujeemu nga bo. Yasamya akamwa ko, olye kye nkuwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa: