Ezekiel 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennyumba ya Yisirayeli yanjeemera mu ddungu: sibaatambulira mu biragiro byange, n'amateeka gange ne bagasambajja, sso ng'omuntu abikwata aliba mulamu olw'okubeera byo; Sabbaato zange ne bazoonoona nnyo. Kyennava ŋŋamba nti nzija kubamalirako obusungu bwange, mbawemmentere mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne batakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, ne Ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne nteekateeka okubamalirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne banjeemera ne mu ddungu. Ne bamenya amateeka gange, ne bagaana okukola bye ndagira, ebiwa obulamu ababituukiriza. Ne boonoona nnyo Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne nteekateeka okubamalirako obusungu bwange mu ddungu okubamalawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; ne ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.