Ezekiel 20:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ku lw'obulungi bw'erinnya lyange nabaggya mu Misiri, kino nakikola okuziyiza erinnya lyange okwonoonebwa mu mawanga gye nabaggya nga bali balaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumibwa mu maaso g'amawanga agaalaba nga mbaggyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumaganibwa mu mawanga agaalaba bwe mbaggya mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.