Ezekiel 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalayira gye bali nga bali mu ddungu nti siribayingiza mu nsi gye nabawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, etejjika bulungi mu mawanga gonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nali mbawadde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga sigenda kubaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna;