Ezekiel 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nagamba abaana baabwe mu ddungu nti: ‘Temugobereranga biragiro bya bajjajjammwe, temukwatanga mpisa zaabwe, era temwegwagwawazanga na bifaananyi byabwe ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti, Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe, era temukwatanga biragiro byabwe, era temweyonoonesanga n'ebifaananyi byabwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti: Temukolera ku mateeka bajjajjammwe ge baateekawo, temukwata mpisa zaabwe, era temweyonoona nga musinza ebifaananyi bya balubaale bye baasinzanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe: