Ezekiel 20:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abaana banjeemera; tebaatambulira mu mateeka gange; tebaakuuma biragiro byange, sso ng'omuntu abikwata n'abituusa aba mulamu olw'okubeera byo; ne Sabbaato zange ne bazoonoona. Ne ŋŋamba nti nzija kubamalirako obusungu bwange, mbafukumulireko obuswandi bwange mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ne banjeemera; tebaatambulira mu mateeka gange, tebaakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, baayonoona ne Ssabbiiti zange; kale ne ŋŋamba okubamalirako ekiruyi n'obusungu bwange nga bali eyo mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye n'abaana ne banjeemera. Ne batakwata mateeka gange, era ne batakola bye mbalagira, ebiwa obulamu omuntu abikola. Baayonoonanga Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne ŋŋamba okubamalirako obusungu bwange mbasaanyeewo nga bali mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; baayonoonanga ssabbiiti zange; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange okutuukiriza obusungu bwange eri bo mu ddungu.