Ezekiel 20:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye neekomako, olw'obulungi bw'erinnya lyange nakola ekyo ekyandiriziyizza okwonooneka mu maaso g'amawanga gye nali mbaggye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era saakikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu maaso g'amawanga mwe nnali mbaggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne sikikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu mawanga agaalaba nga bwe nabaggya mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ne nziza omukono gwange ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.