Ezekiel 20:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tebaatuusa biragiro byange, amateeka gange ne bagasambajja, Sabbaato zange ne bazoonoona n'amaaso gaabwe ne gakwatirwa ebifaananyi bya bajjajjaabwe ebya balubaale amaddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga baali tebagondedde biragiro byange, tebakutte mateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baali tebakoze bye mbalagira, nga bagaanye amateeka gange, era nga bajaajaamizza Sabbaato gye nabateerawo, era ng'omutima bagumalidde ku bifaananyi bya balubaale, bajjajjaabwe bye baasinzanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga baali tebatuukirizza misango gyange, naye nga bagaanyi amateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe.