Ezekiel 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabaleka ne beejaajaamya n'ebirabo byabwe – nga bawonga buli muggulanda w'olubuto mu muliro - ndyoke mbaleetere okwetamwa, bamanye nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mbaleka beyonoonese n'ebirabo byabwe bo, bwe bawaangayo mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbabonereze balyoke bamanye nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbaleka beejaajaamye nga bawaayo ebirabo eri ebifaananyi bya balubaale, kubanga baatambiranga abaana baabwe abaggulanda nga babookya, ndyoke mbabonereze mbalage nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbagwagwawaza olw'ebirabo byabwe bo, kubanga baayisanga mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbamaleko byonna, era bamanye nga nze Mukama.