Ezekiel 20:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olw'ekyo nno, mwana w'omuntu, yogera eri ennyumba ya Yisirayeli obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ne mu kino bajjajjammwe banvuma, bwe banjabulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale, omwana w'omuntu, yogera n'ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, ggwe omuntu, yogera n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba, nti era eno ye emu ku ngeri bajjajjammwe mwe banvumiranga, nga bagaana okuba abeesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, omwana w'omuntu, yogera n’ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumidde, kubanga bansobyako ekyonoono.