Ezekiel 20:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bwe nabayingiza mu nsi gye nabalayirira okubawa, bwe baalaba buli kasozi akagulumivu na buli muti oguggumiza, nga batambirirayo ebitambiro, nga baweereza eby'okunnyiiza, nga bassa eyo obuwoowo obulungi n'ebitone byabwe eby'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe nnabaleeta mu nsi gye nnabalayirira okubawa, ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, gye baanyookerezanga eby'akaloosa byabwe, n'ebiweebwayo eby'okunywa bye baayiwangayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bwe nabaleeta mu nsi gye nneerayirira okubawa, ne balaba obusozi obuwanvu n'emiti emiziyivu, ne baweeranga eyo ebitambiro byabwe. Ne bansunguwaza olw'ebyo bye baaweerangayo, n'ebyakaloosa bye baayoterezangayo, n'ebiweebwayo ebyokunywa bye baayiwangayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe nnali mbayingizizza mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okubawa, kale ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinnyiiza, era eyo gye baanyookerezanga akaloosa kaabwe, ne bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa.