Ezekiel 20:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, yogera eri abakadde ba Yisirayeli obagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Kazzi muzze kunneebuuzaako? Nze nga ndi mulamu, sijja kubakkiriza kunneebuuzaako, Omukama Katonda y'agamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Muzze okunneebuuzaako? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temujja kunneebuuzaako.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, yogera n'abakulembeze b'Abayisirayeli obategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Muzze okunneebuuzaako? Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza mmwe kunneebuuzaako. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ŋŋamba.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muzze okumbuuza? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.