Ezekiel 20:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, gamba ennyumba ya Yisirayeli nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mwegwagwawaza nga bajjajjammwe bwe baakola, ne mukwatirwa ebyenyinyalwa byabwe amaddu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera eby'emizizo gyabwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli, nze Mukama Katonda kye mbagamba nti: ‘Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera emize gyabwe egy'obutaba beesigwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mweyonoonyesa ng'engeri bwe yali eya bajjajjammwe? era mwenda okugoberera emizizo gyabwe?