Ezekiel 20:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muweereza ebirabo byammwe nga muwonga abaana bammwe mu muliro, mwegwagwawaza n'ebifaananyi byammwe byonna ebya balubaale n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Awo nno nze mbakkirize okunneebuuzaako, mmwe nnyumba ya Yisirayeli? Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, sigenda kubakkiriza kunneebuzaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne muwaayo batabani bammwe mu muliro, ne mweyonoonesa n'ebifaananyi byammwe, kale nnyinza ntya okubakkiriza okunneebuuzaako, ayi ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne mutambira abaana bammwe be mwokya, nammwe mwejaajaamya olw'okusinza ebifaananyi bya balubaale. Kale mmwe ab'eggwanga lya Yisirayeli, olwo nnyinza ntya okubakkiriza munneebuuzeeko? Nze Mukama Katonda ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza kunneebuuzaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe muwaayo ebirabo byammwe, bwe muyisa batabani bammwe mu muliro, mweyonoonyesa n'ebifaananyi byammwe byonna ne leero? kale naabuuzibwa mmwe, ai ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe: