Ezekiel 20:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kye mulowooza mu mitima gyammwe si bwe kiriba, bwe mugamba nti: “Tube ng'abantu abalala, ng'amawanga ag'omu nsi, tusinze emiti n'amayinja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'ekyo kye mulowooza nti munaabanga amawanga amalala ag'omu nsi ne musinza emiti n'amayinja tekijja kubaawo n'akatono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekyo kye mulowooza ne mugamba nti munaabeera ng'ab'amawanga amalala, ng'abantu ab'omu nsi endala, ne musinza emiti n'amayinja, tekijja kubaawo n'akatono.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwammwe tekiribaawo n'akatono; kubanga mwogera nti Tunaaba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweereza emiti n'amayinja.